Jeremiah 38:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, abakazi bonna abaali basigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda, baabo bafulumizibwa nga batwalibwa eri abagabe ba kabaka w'e Babiloni; baagenda bayimba nti: “ ‘Baakusendasenda ne bakuwangula abo mikwano gyo be weesiga; ebigere byo bitubidde mu ttosi, mikwano gyo bakwabulidde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti, “ ‘Mikwano gyo gye weesiga baakubuzaabuza ne bakuwangula. Kaakano otubidde mu ttosi. Mikwano gyo gikudduseeko.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba abakazi bonna abaasigala mu nnyumba ya kabaka wa Yuda, baali baafulumizibwa eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, era baali boogera nti, ‘Mikwano gyo beewesiganga baakulimba, era baakuwangudde. Kaakati balabye ebigere byo bitubidde mu bitosi, bakyuse bakuvuddeko.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya, bajja kutwalibwa eri abakungu ba kabaka wa Babilooni era bajja kugenda nga bayimba nti: ‘Mikwano gya kabaka be yeesiganga baamuwubisa bwe baamulimbalimba. Balabye atubidde mu bitosi, kaakati bo beddukidde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abakazi bonna abasigadde mu nnyumba ya kabaka wa Yuda balifulumizibwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, era abakazi abo balyogera nti Mikwano gyo ennyo be baakuwaana, n'okusobola bakusobodde: ebigere byo nga bimaze okutubira mu bitosi, bazze ennyuma.