Jeremiah 38:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakazi bo bonna n'abaana bagenda kufulumizibwa batwalirwe Abakaludeya; naawe tolibasumattuka, wabula oliwambibwa kabaka w'e Babiloni n'ekibuga kino ne kyokebwa omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakazi bo bonna n'abaana bo balibafulumya eri Abakaludaaya, era gwe kennyini toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa kabaka w'e Babbulooni; era ekibuga kino balikyokya omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bajja kufulumya bakazi bo bonna n'abaana bo babaweeyo eri Abakaludaaya. Era naawe wennyini tojja kubeesumattulako, naye bajja kukuwamba, bakuweeyo eri kabaka w'e Babilooni, ate ekibuga kino kyokebwe omuliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balifulumya bakazi bo bonna n'abaana bo eri Abakaludaaya: so toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa n'omukono gwa kabaka w'e Babulooni: era olyokesa omuliro ekibuga kino.