Jeremiah 38:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya n'agamba Yeremiya nti: “Tewaba n'omu amanya ku bigambo bino, sikulwa ng'ofa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti, “Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, era togenda kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zeddeekiya n'aŋŋamba nti: “Tobaako n'omu gw'obuulirako ku bigambo ebyo, olwo tootuukibweko kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, kale tolifa.