Jeremiah 38:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bwe banaawulira nga njogedde naawe, ne bajja bakugamba nti: ‘Tubuulire bye wagambye kabaka naawe kabaka bye yakugambye; tobitukisa oba si ekyo tukutta,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti, ‘Tubuulire nno bye wagamba kabaka, era ne kabaka bye yakugamba; totukisa, naffe tetuukutte;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu bwe banaawulira nti njogedde naawe, ne bajja okukubuuza bye twogedde, nga bakusuubiza obutakutta singa onoobabuulira byonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti Tubuulire nno bye wagamba kabaka; tokitukisa, naffe tetuukutte; era n'ebyo kabaka bye yakubuulira;