Jeremiah 38:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakungu tebaalwa, ne bajja bonna eri Yeremiya, ne bamubuuza. Yabaddamu kimu ddala nga kabaka bwe yali amulagidde; nabo ne bamuvaako, kubanga tewaali awulidde mboozi ye na kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza, n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne bamuleka kubanga tewali yali awulidde ebyayogerwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu bonna ne bajja gye ndi ne bambuuza, ne mbaddiramu ddala kabaka bye yali andagidde okwogera. Awo ne bandeka kubanga tewali yali awulidde byayogerwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza: n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne balekayo okwogera naye; kubanga ekigambo ekyo tekyategeerebwa.