Jeremiah 38:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: Tewali kubuusabuusa, ekibuga kino kigenda kuweebwayo mu mikono gy'eggye lya kabaka w'e Babiloni; alikiwamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni, naye alikimenya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne mbagamba nti Mukama agambye nti: “Tewali kubuusabuusa, ekibuga kino nja kukiwaayo eri eggye ly'Abakaludaaya likiwambe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya.