Jeremiah 38:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ne bagamba kabaka nti: “Omuntu ono attibwe. Aterebula buterebuzi batabaazi abaasigala mu kibuga kino n'abantu bonna awamu ng'ababuulira ebifaanana bityo. Ekituufu omusajja ono takolerera bulungi bwa bantu bano, wabula kabi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya abasajja abalwanyi, awamu n'abantu bonna abasigadde mu kibuga muno, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza bantu bano mirembe, wabula obubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu abo ne bagamba kabaka nti: “Omusajja ono attibwe, kubanga abaserikale era n'abantu abalala abasigadde mu kibuga kino, abamalamu amaanyi ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo. Omusajja ono tayagaliza bantu bano mirembe, wabula akabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakungu ne bagamba kabaka nti Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya emikono gy'abasajja abalwanyi abasigadde mu kibuga muno, n'emikono gy'abantu bonna, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza mirembe bantu bano wabula obubi.