Jeremiah 38:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Zedekiya n'abaddamu nti: “Wuuyo, ali mu mikono gyammwe; kabaka talina ky'ayinza kukola kubaziyiza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti, “Laba, ali mu mikono gyammwe, kubanga kabaka, talina kyayinza kukola okubaziyiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Zeddeekiya n'abaddamu nti: “Wuuyo, ali mu mikono gyammwe. Nze nga kabaka, sirina kye nnyinza kubaziyiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti Laba, ali mu mukono gwammwe: kubanga kabaka si ye ayinza okukola ekigambo kyonna okubaziyiza.