Jeremiah 38:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bakwata Yeremiya, ne bamusuula mu luzzi lwa Malukiya mutabani wa kabaka olwali mu luggya lw'abakuumi ne bamukkiriza mu luzzi n'emiguwa; mu luzzi temwali mazzi wabula ettosi, Yeremiya n'akkirira bw'atyo mu ttosi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu luzzi lwa Malukiya omwana wa kabaka, olwali mu luggya olw'abambowa, ne basuulamu Yeremiya nga bakozesa emigwa. So mu luzzi temwali mazzi wabula ebitosi, Yeremiya n'atubira mu bitosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bankwata, ne banzisa n'emiguwa mu luzzi lw'omulangira Malukiya, olwali mu luggya lw'olubiri, nga teruliimu mazzi, wabula ettosi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu nnyumba ey'obunnya eya Malukiya omwana wa kabaka eyali mu luggya olw'abambowa: ne bassa Yeremiya n'emigwa. So mu bunnya nga temuli mazzi wabula ebitosi: Yeremiya n'atubira mu bitosi.