Jeremiah 38:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Ebedi-Meleki Omukuusi, omulaawo, eyali mu lubiri lwa kabaka, n'awulira bwe basudde Yeremiya mu luzzi. Kabaka yali atudde mu mulyango gwa Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka n'awulira nga batadde Yeremiya mu luzzi. Kabaka yali ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Ebedumeleki Omwetiyopiya omulaawe, eyakolanga mu lubiri lwa kabaka, n'awulira nti bansudde mu luzzi. Mu kiseera ekyo, kabaka yali mu lukiiko ku Mulyango gwa Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu bunnya; kabaka ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini;