Jeremiah 38:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukama wange, kabaka, abasajja abo bakoze bya mbyone mu byonna bye bakoze Yeremiya omulanzi; bamusudde mu luzzi; ajja kufiira omwo enjala kubanga mu kibuga temukyali mmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi okusuula Yeremiya nnabbi mu luzzi; era ajja kufiira omwo enjala, kubanga tewakyali mmere yonna mu kibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ssaabasajja, basajja bo bakoze bubi nnyo. Yeremiya omulanzi bamusudde mu luzzi, mw'ajja okufiira enjala, kubanga tewakyali mmere mu kibuga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze Yeremiya nnabbi gwe basudde mu bunnya; era ayagala kufiira mu kifo mw'ali olw'enjala: kubanga tewakyali mmere mu kibuga: