Jeremiah 39:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomwenda ogwa Zedekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi, Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni n'eggye lye lyonna baalumba Yeruzaalemu ne bakizinda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda, ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi (10), Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, n'eggye lye lyonna n'alumba Yerusaalemi n'akizingiza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwezi ogw'ekkumi ogw'omwaka ogw'omwenda nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'ajja n'eggye lye lyonna, n'alumba Yerusaalemu, n'akizingiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni mwe yajjira n'eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n'akizingiza;