Jeremiah 39:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Nabuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka abantu abanaku abaali batalina kantu yabaleka mu nsi ya Yuda; ku olwo n'abagabira ennimiro z'emizabbibu n'ennimiro endala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka mu nsi ya Yuda, abamu ku baavu abatalina kintu, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Buyudaaya yalekamu abamu ku baavu abataalina kantu, n'abawa ennimiro z'emizabbibu n'ebibanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro mu biro ebyo.