Jeremiah 39:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni yali alagidde bw'ati Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ku Yeremiya:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebikwata ku Yeremiya ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni n'alagira Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye nti: “Yeremiya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'ayogera nti