Jeremiah 39:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne batumya okuggya Yeremiya mu luggya lw'abakuumi, ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, amuzzeeyo eka ewuwe. Bw'atyo n'asigala mu bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne batumya Yeremiya, ne bamuggya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka; awo n'abeera mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bantumya, ne banzigya mu luggya lw'olubiri, ne bankwasa Gedaliya mutabani wa Ahikaamu era muzzukulu wa Safani, antwale ewange. Awo ne mbeera mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n'abeera mu bantu.