Jeremiah 39:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya bwe yali ng'akyassiddwako ekkomo mu luggya lw'abakuumi, ekigambo ky'Omukama ne kijja gy'ali nga kigamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali nga nkyasibiddwa mu luggya lw'olubiri, Mukama n'aŋŋamba
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa; nga kyogera nti