Jeremiah 39:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda obuulire Ebedi-Meleki Omukuusi nti: ‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Ŋŋenda okutuukiriza ebigambo byange ku kibuga kino olw'akabi, sso si olw'obulungi. Ku olwo bigenda kutuukirira mu maaso go, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndituukiriza ebigambo byange ku kibuga kino, olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutegeeza Ebedumeleki Omwetiyopiya nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Nja kutuusa akabi sso si birungi ku kibuga kino, nga bwe nagamba okukola. Kino bwe kinaatuukirira, naawe ojja kukirabako n'amaaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isirarei nti Laba; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli.