Jeremiah 39:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ŋŋenda kukuwonya; togenda kufa kitala, wabula olisumattuka ng'oli mulamu, kubanga wanneesiga, Omukama y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga sirirema kukulokola, togenda kuttibwa, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli, kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukutaliza, tojja kuttibwa. Ojja kuwonya obulamu bwo, kubanga onneesize. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Sirirema kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli: kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.