Jeremiah 39:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zedekiya, mu mwezi ogwokuna, ng'ennaku ttaano, ekisenge ky'ekibuga ne bakibomola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya, mu mwezi ogwokuna ku lunaku ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwo, Abakaludaaya ne batema ekituli mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga Zeddeekiya ye kabaka, Abakaludaaya ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:)