Jeremiah 39:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ba kabaka w'e Babiloni bonna ne bajja ne batuula ku Mulyango gwa Wakati: Nerugali-Sarezeri, Samugari-Nebo, Serusekimu omukungu omukulu, Nerugali-Sarezeri akulira abalaguzi n'abakungu abalala bonna aba kabaka w'e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerusaalemi bwe kyawambibwa, abakungu bonna aba kabaka w'e Babbulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati; Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu ba kabaka wa Babilooni bonna, omwali Nerugalusarezeeri ne Samugaruneebo, ne Sarusekimu Rabusarisi, ne Nerugalusarezeeri Rabumagi, ne bayingira, ne batuula mu Mulyango Ogwawakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babulooni.