Jeremiah 39:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya kabaka wa Yuda n'abatabaazi be bonna bwe baalaba, ne badduka. Ekibuga baakifuluma kiro nga bayitira mu nnimiro ya kabaka ne mu mulyango oguli wakati w'ebisenge ebibiri, ne bakwata ekkubo eriraga mu Araba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro, nga bayitira mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri; ne bagenda nga boolekedde Alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Zeddeekiya n'abakungu be bonna bwe baalaba ebiguddewo, ne badduka, bave mu kibuga ekiro. Baayitira mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne babomba nga boolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n'afuluma mu kkubo erya Alaba.