Jeremiah 39:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eggye ly'Abakaludeya ne libawondera, ne likwatira Zedekiya mu lusenyi lwa Yeriko, ne bamuwamba, ne bamutwala ewa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni e Ribula mu nsi ya Kamati, n'amusalira omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libawondera, ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi e'ze Yeriko; ne bawamba Zeddekiya, awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye eggye ly'Abakaludaaya ne libawondera, ne liwambira Zeddeekiya mu nsenyi z'e Yeriko. Awo ne bamutwala eri Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni e Ribula mu kitundu ky'e Amati, n'amusalira omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.