Jeremiah 39:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo e Ribula kabaka w'e Babiloni gye yasanjagira batabani ba Zedekiya awo mu maaso ge; kabaka w'e Babiloni n'atta n'abakungu ba Yuda bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Babbulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula, nga Zeddekiya yennyini alaba, era kabaka w'e Babbulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo e Ribula kabaka wa Babilooni gye yattira abaana ba Zeddeekiya nga Zeddeekiya yennyini alaba. N'atta n'abakungu ba Buyudaaya bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Babulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng'alaba: era kabaka w’e Babulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda.