Jeremiah 39:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Nabuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'atwala e Babiloni abantu bonna abaali basigadde mu kibuga n'abo abaali bamwegasseeko n'abantu abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babbulooni nga basibe abantu bonna, abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abo abaali badduse ne beewaayo eri Abakaludaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna abaali basigadde mu kibuga, n'abaali badduse ne beewaayo, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye n'abatwala e Babilooni mu busibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abasenze abaamusenga, n'abantu abafisseewo abaali basigaddewo.