Jeremiah 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba odda, ayi Yisirayeli,” Omukama y'agamba, “dda gye ndi. Bw'oggya mu maaso gange ebyenyinyalwa byo, n'otoyongera kutangatanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama, “eri nze gy’olina okudda. Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna n’otosagaasagana,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda. Bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, oba nga mukkiriza okudda gye ndi, kale mudde. Bwe muggyawo mu maaso gange ebyenyinyalwa byammwe, ne muba beesigwa gye ndi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda: era bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;