Jeremiah 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ŋŋamba nti: “Omukama Katonda, nga walimba abantu bano ne Yeruzaalemu bwe wagamba nti: ‘Mulifuna eddembe’ sso ng'ekitala kituli ku mimiro!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti, ‘Muliba n'emirembe;’ naye ekitala kituutuuka ku mmeeme.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, olimbyerimbye eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu ng'ogamba nti: ‘Muliba mirembe!’ Naye ekitala kisembedde okubasaanyaawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti Muliba n'emirembe; naye ekitala kituuka ku mmeeme.