Jeremiah 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo baligamba eggwanga lino ne Yeruzaalemu nti: “Embuyaga eyokya ey'oku busozi bw'omu ddungu obwereere ekunta, ejja eri abantu bange; naye tejjirira kuwewa oba kukuŋŋunta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti, “Embuyaga ez'olubugumu eziva ku ntikko ze nsozi enjereere mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu nti: “Embuyaga ey'ebbugumu efuuwa, ng'eva ku nsozi mu ddungu okujja gye muli, si mpewo empeweevu, efuuwa obufuuyi ebisukunku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti Embuyaga ez'olubugumu eziva ku nsozi ez'obweru mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa;