Jeremiah 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empisa zo n'ebikolwa byo bye bikakusombedde; eno ye nnaku yo! Ng'ekaawa! Ng'esogga n'omutima!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Empisa zammwe, n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino. Kino kye kibonerezo kyammwe. Nga kya bulumi! Nga kifumita omutima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikuleetedde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buyudaaya, ggwe weereetedde ebyo olw'enneeyisa yo, n'olw'ebyo by'okoze. Ekibi kyo kye kireese okubonaabona kuno, era kye kikufumise omutima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikufunidde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.