Jeremiah 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'onoolayiranga nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu,’ mu mazima mu bwesimbu ne mu butuukirivu, olwo amawanga gonna ganaaweerwanga omukisa mu ye, era mu ye mwe ganaatenderanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo olirayiranga nti, Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo munaalayiranga mu mazima, mu bwenkanya, ne mu butuufu nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’ Era olwo amawanga gonna ganansabanga okugawa omukisa, era ganantenderezanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olirayiranga nti Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.