Jeremiah 4:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabenje ku kabenje; ensi yonna efuuse matongo; Weema zange amangu ago zisaanyiziddwawo, ensiisira zange mu kaseera buseera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuzikirizibwa kweyongeddeko era ensi yonna eyonooneddwa. Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera, n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuzikirizibwa okuddirirwa okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna eyonooneddwa, amangu ddala eweema zange zonooneddwa, n'entimbe zange mu kaseera bu seera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabi kaddirira kabi, kubanga eggwanga lyonna lyonooneddwa Amangwago eweema zaffe zizikiriziddwa, entimbe zaazo ziyuziddwa obulere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuzikirizibwa okuli kungulu w'okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna enyagiddwa: eweema zange zinyagiddwa nga simanyiridde, n'amagigi gange mu kaseera kamu.