Jeremiah 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bange basiru; tebamanyi. Biwowongole bya baana, tebalina ke bategeera; bakugu mu kukola obubi; tebamanyi kukola kirungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi. Baana abatalina magezi; abatategeera. Bakagezimunnyu mu kukola ebibi, tebamanyi kukola birungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole by'abaana, so tebalina kutegeera, ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu bange basirusiru tebammanyi. Bali ng'abaana ababuyabuya: tebaliimu kategeera. Bamanyirivu mu kukola ebibi, naye okukola ebirungi tebamanyi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole bya baana, so tebalina kutegeera: ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.