Jeremiah 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natunula, ensi temwali kantu, nga njereere, n'olubaale, ekitangaala kyalwo nga kizaamye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Natunuulira ensi, nga njereere, ate ne ntunula ne ku ggulu, ng’ekitangaala kigenze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba ensi, laba nga njereere, era nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga tekuli kitangaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natunuulira ensi, ne ndaba nga njereere era ng'eri mu mbeera eyeetabuddetabudde, n'eggulu nga teririiko kitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nalaba ensi, era, laba, nga njereere nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga temuli musana.