Jeremiah 4:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natunula, eyali ensi engimu, nga ddungu; ebibuga byamu byonna nga matongo, mu maaso g'Omukama, mu maaso g'obusungu bwe obwesera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu, era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama, olw’obusungu bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atunula, era, laba, ennimiro engimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga biri mu matongo olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natunula ne ndaba ng'ensi engimu efuuse ddungu, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyeddwamenyeddwa, olwa Mukama okusunguwala ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Natunula, era, laba, ennimiro eŋŋimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyesemenyese, olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.