Jeremiah 4:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ensi yonna egenda kulekebwa matongo, naye era sigenda kugisaanyizaawo ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriyonoonebwa, wadde nga sirigizikiririza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriba nsiko; naye sirigisaanyizaawo ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ensi yonna erizika, naye sirigisaanyizaawo ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ensi yonna eriba nsiko; naye sirikomekkerereza ddala.