Jeremiah 4:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'olw'ekyo ensi erikungubaga olw'ekyo, n'eggulu waggulu lirikwata kazigizigi, kubanga njogedde, nateesa, sigenda kwejjulula; sigenda kukuba kaddannyuma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ensi erikungubaga era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza, kubanga njogedde era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala, kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sigenda kukyejjusa, so siridda mabega okukireka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi kyeriva enakuwala, n'eggulu ne liddugala. Nze nkyogedde, sijja kukikyusa. Mmaliridde, sikyeddamu kukireka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala: kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sejjusizza, so siridda nnyuma okukireka.