Jeremiah 4:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okuwuuma kw'abeebagazi n'abalasa obusaale, buli kibuga kidduka. Beesogga ebisaka; bawalampa enjazi. Ebibuga byonna birekeddwa ttayo; temusigadde asulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale, ebibuga byonna biribuna emiwabo, abamu beesogge ebisaka; n’abalala balinnye waggulu ku njazi. Ebibuga byonna birekeddwa ttayo; tewali abibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja; buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluliwulira okuleekaana kw'abeebagazi b'embalaasi n'abalasi b'obusaale, bonna balidduka. Abamu balyefubitika mu bibira, abalala balirinnya enjazi. Ebibuga byonna birirekebwa awo, tewaliba babibeeramu nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo.