Jeremiah 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba abantu ba Yuda n'abatuuze b'omu Yeruzaalemu: “Mukabale ebisambu byammwe, muleke kusiga mu maggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti, “Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime, temusiga mu maggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: “Mulime ettaka lyammwe eritali ddime, era temusiga mu maggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa.