Jeremiah 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nno omuleke amatongo, onookola ki? Otegeeza ki okwambala ebitwakaavu, n'okwenaanika amagemu ga zaabu, n'okutona amaaso go ne langi? Weenyiririza bwereere. Baganzi bo bakunyooma; baagala kukutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okola ki ggwe, ggwe eyayonoonebwa? Lwaki oyambala engoye entwakaavu, ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu, n’amaaso n’ogasiiga langi? Omala biseera nga weeyonja. Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe ggwe eyalekebwawo otegeeza ki bw'oyambala olugoye olutwakaavu, ne weeyonja n'ebintu ebya zaabu, n'okanula amaaso ng'osiigako langi? Omala biseera nga weeyonja; baganzi bo bakunyooma; banoonya obulamu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Yerusaalemu, oyabuliddwa! Oyambalira ki ebimyufu? Weewoomeza ki n'ebya zaabu wadde okwetona langi ku bisige by'amaaso? Weenyiririza bwereere. Baganzi bo bakunyooma, era banoonya kukutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe bw'olinyagibwa olikola otya? Newakubadde ng'oyambala olugoye olutwakaavu, newakubadde nga weeyonja n'ebintu ebya zaabu, newakubadde ng'ogaziya amaaso go nga weesiigako eddagala, weefuulira bwereere omulungi: baganzi bo bakunyooma, banoonya obulamu bwo.