Jeremiah 4:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpulira okukaaba ng'okw'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze bw'azaala ogusooka; emiranga gya muwala wa Siyoni ataawa; akuba emikono ng'agamba nti: “Ndabye! Nzirika! Mpeereddwayo mu batemu”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala, okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka, okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka, ng’agolola emikono gye ng’agamba nti, “Zinsanze nze, nzirika. Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni asika omukka, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti, “Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, omulanga ng'ogw'omukazi azaala omwana we omuggulanda. Lye ddoboozi lya Yerusaalemu asika omukka nga tegujja. Ayanjala emikono gye ng'agamba nti: “Nga zinsanze! Obulamu bwange buggwaawo, abatemu babusaanyaawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni alaakiira, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.