Jeremiah 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musimbe ebendera mu Siyoni; mudduke, temuyimirira. Kubanga ndeeta akabi okuva emambuka, okuzikirira okw'amaanyi, okunene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weereza obubaka eri Sayuuni nti, Mudduke temulwa, kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono, okuzikiriza okw’amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni, mudduke muwone, temulwawo, kubanga ndireeta obubi obuliva obukiikakkono n'okuzikiriza okunene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwanike bbendera nga mulaga e Siyooni. Mudduke okwewonya, temulwa, kubanga Mukama alireeta akabi n'okuzikirira okw'amaanyi okuva mu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni: mudduke muwone, temulwawo: kubanga ndireeta obubi obuliva obukiika obwa kkono n'okuzikiriza okunene.