Jeremiah 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empologoma esituse okuva mu nfo yaayo, omuzikiriza w'amawanga asimbudde ekigere; avuddeyo ewuwe ensi yo alyoke agifuule matongo; ebibuga byo bya kuleka bifulukwa, bya kusigala matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empologoma evudde mu kisaka kyayo, omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo. Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa bibuleko abibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo abizise obutabaamu abibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzikiriza w'amawanga avuddeyo ng'empologoma eva mu kisaka kyayo. Azze okuzikiriza ensi yammwe. Ebibuga byammwe alibizikiriza ne bitabaamu abibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo babizise obutabaamu abibeeramu.