Jeremiah 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo,” Omukama y'agamba, “kabaka n'abakungu be emmeeme eribagwa wala, bakabona baliwuniikirira n'abalanzi be baliwunga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo, kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo, bakabona basamaalirire ne bannabbi beewuunye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo, kabaka n'abakungu baliggwaamu amaanyi. Bakabona balisamaalirira, n'abalanzi balyewuunya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olutituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya.