Jeremiah 40:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ne kiva ew'Omukama ne kijjira Yeremiya oluvannyuma lwa Nabuzaradani omukulu w'abakuumi okumuteera e Rama, gye yamusanga nga musibe mu njegere mu bantu bonna abaali bawaŋŋangusiriziddwa e Babiloni okuva mu Yeruzaalemu ne mu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama, oluvannyuma lwa Nebuzaladaani omukulu w'abambowa okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba, awamu n'abawambe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaali bawaŋŋangusirizibwa e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'ayogera nange, nga Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye amaze okunteera mu Raama, gye nali ntwaliddwa nga ndi musibe n'enjegere, awamu n'abantu bonna abaava mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya, ne batwalibwa e Babilooniya nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa bwe yamala okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba mu basibe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaatwalibwa e Babulooni nga basibe.