Jeremiah 40:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayudaaya bonna abaali baddukidde e Mowabu, mu Bammoni, mu Edomu ne mu nsi endala zonna, bwe baawulira nga kabaka w'e Babiloni alese abasigaddewo mu Yuda, era ng'alonze Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, afuge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe batyo n'Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu, ne mu baana ba Amoni, ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi endala zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni, yaleka Abayudaaya abamu abaafikkawo okusigala mu Yuda, era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu, Akikamu mutabani wa Safani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abayudaaya abalala abaali mu Mowaabu ne mu Ammoni ne mu Edomu, ne mu nsi endala, ne bawulira nga kabaka wa Babilooniya yakkiriza Abayudaaya abamu okusigala mu Buyudaaya era nga Gedaliya gwe yawa okubafuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe batyo Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu ne mu baana ba Amoni ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afissizzaawo ku Yuda era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu mutabani wa Safani;