Jeremiah 40:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali basaasaanidde, ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa; ne bakuŋŋaanya evviini n'ebibala eby'ekyeya bingi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bava mu bifo byonna gye baali basaasaanidde, ne badda mu Buyudaaya. Ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge gw'emizabbibu era n'ebibala bingi nnyo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini.