Jeremiah 40:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Yokanani mutabani wa Karewa n'abagabe bonna mu ggye abaali bakyali eyo mu byalo bajja eri Gedaliya mu Mizupa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abakulembeze b'abaserikale ne bajja eri Gedaliya e Mizupa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa