Jeremiah 40:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamugamba nti “Tomanyi nti Baalisi kabaka w'Abammoni atumye Yisimayeli mutabani wa Netaniya akutte?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyabakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bamugamba nti: “Okimanyi nga Baalisi kabaka wa Ammoni atumye Yisimayeli okukutemula?” Naye Gedaliya n'atakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamugamba nti Omanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta? Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza.