Jeremiah 40:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yokanani mutabani wa Karewa n'agamba Gedaliya mu kyama e Mizupa nti: “Ka ŋŋende nzite Yisimayeli mutabani wa Nekaniya, tewali ajja na kukimanyaako. Lwaki yandikusse n'Abayudaaya bonna ababadde bakukuŋŋaaniddeko n'abaleetera okusaasaana, ababadde basigaddewo mu Yuda ne bazikirira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti, “Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya; yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakukuŋŋaaniddeko ne basaasaana, era n'abantu bonna abaafikkawo abasigala mu Yuda ne bazikirira?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yohanaani n'amugamba mu kyama nti: “Ka ŋŋende nzite Yisimayeli, tewali ajja kumanya amusse. Lwaki yandikusse, Abayudaaya bonna abakukuŋŋaaniddeko ne basaasaana, era n'abantu bonna abasigadde mu Buyudaaya ne bazikirira?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya: yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanye gy'oli n'okusaasaana ne basaasaana, n'ekitundu kya Yuda ekifisseewo ne kizikirira?