Jeremiah 40:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'ayanukula Yokanani mutabani wa Karewa nti: “Tokola kigambo ekyo; ebyo by'oyogera ku Yisimayeli bya bulimba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kigambo ekyo, kubanga Isimaeri omuwaayiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Gedaliya n'addamu nti: “Tokola ekyo. By'oyogera ku Yisimayeli si bituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti Tokola kigambo ekyo: kubanga omuwaayiriza Isimaeri.