Jeremiah 40:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukulu w'abakuumi n'akwata Yeremiya n'amugamba nti: “Omukama Katonda wo yalangirira ekifo kino akabenje kano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “ Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama Katonda wo yalangirira obubi buno ku kifo kino;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuduumizi w'eggye n'anziza ku bbali, n'aŋŋamba nti: “Mukama Katonda wo yalangirira akabi kano eri ensi eno,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti Mukama Katonda wo yayogera obubi buno ku kifo kino